Galatians 5

Eddembe mu Kristo

1 aKale nga Kristo bwe yatufuula ab’eddembe, bwe mutyo munywerere mu ddembe eryo muleme kusibwa nate mu kikoligo ky’obuddu.

2 bKa mbategeeze nze Pawulo: Bwe mukomolebwa, nga Kristo taliiko ky’abagasa. 3 cEra nziramu okutegeeza buli muntu akomolebwa nti alina ebbanja okutuukiriza amateeka gonna. 4 dMwava mu Kristo mmwe abanoonya okufuna obutuukirivu olw’amateeka. Mwava mu kisa. 5 eKubanga ffe, ffe ku bw’Omwoyo olw’okukkiriza tulindirira n’essuubi obutuukirivu. 6 fKubanga mu Kristo Yesu, okukomolebwa oba obutakomolebwa, tekulina maanyi, wabula okukkiriza kukola olw’okwagala.

7 gMwali mutambula bulungi. Ani eyabasendasenda n’abaggya ku kugondera amazima? 8 hOkusendebwasendebwa okwo, si kw’oyo eyabayita. 9 iEkizimbulukusa ekitono kizimbulukusa ekitole kyonna. 10 jMbeesiga mu Mukama waffe nga temujja kulowooza kintu kirala kyonna. Naye oyo abateganya alisalirwa omusango ne bw’aliba ani. 11 kNaye nze abooluganda, oba nga nkyayigiriza okukomolebwa, lwaki njigganyizibwa? Kale enkonge ey’omusaalaba evuddewo. 12Nnandyagadde abo abaabateganya beeraawe.

Obulamu bw’Omwoyo

13 lKubanga mmwe abooluganda mwayitibwa lwa ddembe, noolwekyo eddembe teribawa bbeetu kugoberera bya mubiri. Naye olw’okwagala buli omu abeerenga muweereza wa munne. 14 mKubanga amateeka gonna gatuukirizibwa mu tteeka lino nti: “Yagalanga muntu munno nga bwe weeyagala wekka.” 15Naye obanga muneneŋŋana mwegendereze muleme okwezikiriza. 16 nMbagamba nti, mutambulirenga mu Mwoyo, mu ngeri yonna, mulemenga kutuukiriza kwegomba kwa mubiri. 17 oKubanga okwegomba kw’omubiri kulwanagana n’Omwoyo, n’Omwoyo n’alwanagana n’omubiri; kubanga bino byombi bikontana, mulemenga okukola bye mwagala. 18 pNaye bwe muluŋŋamizibwa Omwoyo, olwo nga temukyafugibwa mateeka.

19 qEbikolwa by’omubiri bya lwatu, bye bino: obwenzi, obukaba, obugwenyufu, 20Okusinza bakatonda abalala, obufumu, obulabe, okuyomba, obuggya, obusungu, okwekuluntaza, okweyawula, okwesalamu, 21 rettima, obutamiivu, ebinyumu, n’ebirala ebiri ng’ebyo. Ka mbategeeze nate nga bwe nasooka okubabuulira nti buli akola ebyo talina mugabo mu bwakabaka bwa Katonda.

22 sNaye ebibala eby’Omwoyo bye bino: okwagala, essanyu, emirembe, obugumiikiriza, ekisa, obulungi, obwesigwa, 23 tobuwombeefu, okwefuga; awali ebyo tewali tteeka libiwakanya. 24 uN’abo aba Kristo Yesu baakomerera omubiri n’okwegomba kwagwo, n’omululu gwagwo. 25Kale bwe tuba abalamu ku bw’Omwoyo, tugobererenga okuluŋŋamizibwa kw’Omwoyo. 26 vTulemenga okwemanya, n’okunyizaganya, n’okukwatiragananga obuggya.

Copyright information for LugEEEE